text
stringlengths
0
2.73k
abasoggola emmere baakedde kwekweka tufumbe akanyaala kano anti mulyabuto
ako akafulaano kaleete nkozeeko ndaba kagubaasidde
atayagala kuyiga yekotoggera yekka nze mbagambye mweweeyo
bano abatalya kyetutumula b'awa
bwolinda okuzaala ng'okaddiye otawaana nyo anti oba owedde kumpagala
egyo emyango wagibazze mu muti ki
emisizi gyange gyonna nnagitunze mpone okuyombagana n'ababbi
emiti ginnansangwa gyonna giweddewo ensangi zino tusimba migwiira
eno etonnye olukeremette eneetuganya okukola olwaleero
mu nsiko eyo oyiseemu otya mu ttuntu lino weesiga ki
mwanawange njuna ekibanyi kyange kiyiise kyetaaga kuddaabiriza
okuyamba ateyamba kuba kuteganira bwemage
omukulu yatusabye tuyambagane era n'okwagalana
owange omukolo gwokwalula abaana gw'agenze gutya
oyo bw'omuleka awo yekka agenda kw'onoona ebintu mutwale
yanguwa ogende musabe ku kasengejja nga tannaggalawo
ab'oluganda abo tebateNGNGana oba bagoba kaki ennaku zino
abaana baaluno temuli nsa anti laba bali bwe babuzeeko katono okuyita obuswa
abaana bange temubaterekedde ku bumba nga babadde balyesunga
ababazzi bakoowa naye tebakira bazimbi
abamu gyebeekokkolera enkuba okutonnya olutata bbo abalimi bazina gunteese
abange eryo sikkonkome eyo mba lasaasa mugitte tebabojja
abange mwanguwe tulye nga bukyalaba anti amafuta gawedde mu ttaala zonna
abange eyabadde ayokya ggonja yabivuddeko nzize mweyongere
abantubalamu magoma gaavugira aliwo abo bagendeko mpola
abao baveeko tebaagalira ddala kuziikirako banaabwe
abasajja abasalamala bakirako bavubi tebalwa mu kitundu
abo banno boolaba ba lubojje bulala ensiko kyevudde eduumuuka bwetyo
abo tobesaako balina ekibayinula
abo tobeteekako b'ategeka dda ennimiro zaabwe balinda nsigo
akasaka ako bakatuwonyezza mbu mubaddemu owe kalungu
akatogo kano kawooma naye omwana yakalunze mmula kabuze kata kanneme
amata g'embuzi teganyweeka naye abo abaana kwebafiira
amatu g'omwana oyo gaamagalala nga agakamyu anti mulengere
amazzi ago muganaabe nteekeko aga kitamwe
ani y'abawadde akatiba kange
ani yasibye ente ku ttale nataginyweza anti yiiyo ekitudde
atasobola kwetikka tangoberera asigale nze sitambula nabanafu
ate oli atambula ekisezesezi olabye ki
awali akakka kali k'olengera wewali ekijjukizo kyabazira anti tewaggwa bantu
ba nnyabo eryo ekkubo lyazibwa muyite mu lino temugwa mu kateebe
ba ssebo ani amanyi e katereke ewa byuma antwalireyo ekitereke kino
baaba olengera omuwafu guli emmanga awo weewaziikwa lunkulubuse
baakugambye obatwalire embazzi ne nnajjolo ebyo
baani abavumye abayizi nga batabuse
bagamba mbu ekyamugobya gyeyali kubaamu by akalogokalenzi
bali abasimbudde mu ttuntu lino ani abagobye
bambi musaasire okukeerewa akagaali ke kaakutuse amayembe
bannange munsaasireko anti kojjange oli omudingidi lwatutte
bano abaana baawano bakyali mugga
bano abaana emiyembe bagimazeeko na nkonyogo omuti mukalu
batugambye nti teyalwadde yafudde kibwatukira
batugambye nti okuziika kwa nkya kwekusalawo tugende ddala e nkya
bino ebisasiro lwaki temubiggyawo ne mubitwala mu lusuku
bobadde oyagala baenze kwewandiisa
buli atatya musajjamunne abaako nekyanoonya mwenno musaage
buli bbaggiro litekeddwa okuba eriyonjo obukyafu ndwadde njereere
buli obukoko nga bukuungiriza bulabye ki
bw'oba ogenda kukoola bijanjaalo twala kano akasimu
bw'oba osigula endu sigula ku kiri ekya ngwabuzito
bw'oba oyagala lujjo genda wa ssenga y'atera okutwazika
bw'olaba asirise munnange omunyooma naye yatuzimudde yeyakoze amagero ago
bw'olimba n'olimba weekanga naawe weerimbye
bw'oyitiriza okwewola wandiremwa okusasula amabanja agamu weegendereze
bwanaanika ekkanzu eyo eya kkaniki ofaananira ddala kitaawo
bwe weggama enkuba totya kutoba
bweyayiinze ennyonta n'enjala wamma yabuzeeko katono agwe kawansazi
bwoba ogenda ku kibuga ntwaliraayo ebirango bino
bwoba onoogenda nnaffe olina kukeera
bwoba owezezza ensimbi zeyakusaba ate olinda ki okuzimutwalira
bwoba oyagala oyo akuliire ku mmere togeza n'osiika enva ezo
bwolaba olunywankoko ngomanya yatonnye
bwolabanga ebinyonyi ebyo ebiyitibwa ebirinzi ng'omanya enseenene zigobye
bwosanga NGNGenze ttonenya ndi kubwangu
bwoteetegula bayomba naawe bandikutwaliramu gwenno ddaawo
bwotova wano ojja kutuleetera emirerembe balo omumanyi tanywa guteeka
bwowulira nga nkubagulizaako ng'omanya kabwejumbira agguse
e ddambwe wewaali omusawuzi aloga eddalu yeyavumula ne byabali
ebiro bino nkumu balya ekibu kimu kyokka
ebya kuno tojja kubisobola anti buli omu alimirira munno
eddiba eryo mulibaambire wali awagazi
eggulo twasanze erye kalungu ku luzzi netufubutuka buli omu yakutte lirye
ekiri ewaffe tekirojjeka ate abaana ba zibuda tebaziikudde kitaabuwe e batunde ettaka
ekisanirizo bwekiba kibuze ezo enviiri zitwale zisalweko
embuzi zo zoombi zazaadde obubuzi bubiri bubiri olaba bwoyazizza ekisibo amangu
emitala wali ewa musenzemuggya tewaggwa miranga oba kiki
emiti gyamuwogo egyo gitwale ogisimbe ku lusalosalo
emmwanyi ezo zeetaaga kuwagulira ndaba zisaakaatidde nyo
empaka ezo zeegeendereze zirikukubya agakonde kati obadde owakana ki
empaka z'okuvuga obugaali zawanguddwa mutabani wa kirebe
endegeya ezaalinga wano zaasenguka nga siwulirayo kanyego
engeri gy'okooye otyo lwaki tosoose kufuna kozza eri mumwa
enkima kyezaakoze obusooli bwo tekyogerekeka
enkuba yonna yatugwereddeko tuli ku kifugi
enkya tugenda kutaandika kukungula kasooli owe ngulu ku lusozi
ennaku zino bwotaba na nsimbi zaabuliwo teri okuwa kikye
enva zonna omwana aziyiiye tuwonye kumwokya
era ddala obuteeraba bubi ddamazo y'ani avuma banne embaliga
ettendekero lyaffe lye twazimba litandika mwezi gujja okuyigiriza
eyo enju yabulwa agisulamu oba abantu bagityako ki
README.md exists but content is empty.
Downloads last month
30