text
stringlengths 0
2.73k
|
---|
wetwakulira ng'olisozi olwo lwonna kibira naye kati laba mayu mereere |
abaabadde banonye amazzi ndaba ate bakomeddewo awo oba kiki |
abaagala okuyiga okuluka emikeeka be baliyo olwaleero abeebibbo ba nkya |
abaali abakoddomi abalabye batuyittako kuutwe ng'abatatulaba ensi eno |
abaali abatabaazi bonna baayitiddwa baweebwe emiddaali gyabwe |
abaali ba nnanyini yo baagitulekera tugikuume ate gwe ogyagazaaki |
abaali bamanyi ebyedda bagenda bagwaawo ate bagenda n'okumanya kwabwe |
abaali bazze okutusimira oluzzi baddayo dda byabalem tebaddanga |
abaana abaali bakuyambako badda wa |
abaana abo bwe badda batwale embuzi ezo ku ttale |
abaana abo mubanaazeko ndaba batandise okusumagira |
abaana b'oyo bagaana okusoma bonna bakola mu kkolero lya mategula |
abaana b'oyo bonna abazaala kiro |
abaana b'oyo bonna y'abatuuma linny alye oba gaali gaweddeyo |
abaana ba mugandaawo bonna ababatiza leero |
abaana ba muliranwawo bagenda kumala musomo tolema okuyitaayo |
abaana baaluno tebamanyi nga bo bwefaanana bagiyise kisero |
abaana bajojolikana ng'abali mu katale |
abaana bammwe bonna sibaalule oba mulowooza ki temuzaaya omusaayi |
abaana banno bakyaliddwa omulangira twasuze ku tebukye |
abaana bo batya ewange mbu waliyo embugo mu ddiiro |
abaana bonna abasalidde emmimbi atuusa olulwe y'anyuka |
abaana enku zibalemedde wali ku kabira |
abaana mbasanze bazaanyisa enfudu nga balowooza kiyinja |
ababadde bakunoonya obalabye |
ababbi babadde bekweka mu kifulukwa kyawali ku biyinja |
abagenze okuyigga emisu ate tebakwasizza ffumbe |
abagoma bakugambye nti tebalina kebazizza eri mumwa |
abakazi abakolera mu katle ako baagala nyo eby'endola |
abakazi abembuto mwenna babayita engulu eri wano wasigalewo bayonsa bokka |
abakinjaaji baawali beekalakasizza lwa kubagobawo |
abakoze omulimu gwange baliwa mbasasule nga sinnagenda |
abakuba amatofaali emmanga bayonoonye ebitooke byo byonna |
abakulu baakutumyeki gwe amaggula amaaso tolaba nga enjuba egolooba |
abali bakunoonya wabalaba oba anti ssaddamu kubalaba |
abali okumpi awo muwulidde byayogedde |
abalidde amapeera gange beeroope mangu nga sinnanyiiga |
abalimi be kyaggwe bettanidde okulima endaggu ozirabye |
abalimi ennaku zino be bali ku mwanjo mwe mulindeko |
abalina abaana abatagemebwa ku luli enkya lwamwe |
abalina awalimwa ebissera bino be bali ku mwanjo |
abalina kuno amasaanyalaze olowooza bali bameka |
abalongo abo bansanyusa bambi tebateNGNGana |
abalongo tebakutumidde balaamye bulaami |
abalya enswa kuluno bali ku mudido anti ebiswa byonna biseese amatabo |
abanaagenda nnange mwanguwe obudde butuuse |
abanaasaba enkya mutegeke engoye zammwe |
abange abawuuba emikono olubbobbo mululeseeyo emmere munaagireetera wa |
abange eddiro lyonna nga lddugala |
abange enju nga temugitaddeko bumooli abantu tebaafe ekiziyiro |
abange mulindaki awo sabatumye mugende munnonere amaggi |
abange munnindeko mbalaba mwagala kundeka |
abange mwe abaasimye kadoma enkumbi mwagitaddewa |
abange nga mpulira emiranga emitala |
abange nga ndaba emikomba gino mitono ginaamala |
abange temwerabira okutwala abaana okubagema |
abange temwerabira okuziika omuliro ogwo |
abange twanguwe ebikola byatuusiddwa dda ffe balindwa |
abantu abasenga mu nsozi ziri bonna balunzi kyova olaba nga emmere balya nsake |
abantu abo bakuluppya nyo bwobewolako ensimbi bakuwa zitawera |
abantu baakuno bajoozi nnyo baatema ensambya zange zonna oba mbakolere ki |
abantu balamu bazibu omwana teyatunze ente yabanne nga tebategedde |
abantu ennaku zino batabuse nyo emitwe |
abantu tebakyamanyi kugerera ku baana baabwe ngero |
abasajja abamu bagaana bakyal abaabwe okukola mbu bajja kubaliga |
abasajja beeno abasing tebaagala kukozesebwa bakola gyabwe |
abasalamala abaabadde basala emiti gyo b'agenze tebaansasudde |
abasinga bakulaba bulabi tebamanyi nti gwe mukulu wange weyanjule |
abasinga bwe bagobeddwa mu kibuga abalala tebalinze nabo ne bakyaabulira |
abasooka kuno baatukolera ekkubo eddungi |
abasserikale b'akedde kwaza wuwe oba yabuza biki |
abatasobola kwanguwa tubaleke bajja kutulwiza |
abava ewuwo bonna basanyufu bulala obawadde kiki ekyo ekibasanyudde |
abaweesi bonna baasenga nzivunuuko tumya eyo gye baba bakunonera effumu |
abazaanyidde munkuba bwemulwala temutuwoleza |
abeeyo bonna bakyala teri muntu |
abeeyo mwesiimye etonnya buli lunaku naye eno ewaffe pereketya yekka |
abewammwe banaatera okweraliikira nga tebakulabako ggira odde okwaboobwe |
abo ab'asenga awo tebeesembereza muntu yenna oba baakulirawa |
abo abaana balekere munaabwe twanguwe tusange okuziika |
abo abaana bonna tekuli gw'azaala ayamba bayambi |
abo abaawo be bayiwa wano omusulo gw'owulira gucuuma |
abo abalenzi basobola okutikka enku ezo bagambeko olabe |
abo abanyumya olulondakambe tojja kubasobola gira tugende |
abo abatavaayo bagambe nti nze mbalese banaansangayo |
abo abatongo tebateNGNGana ate ekyewunyisa baawasa baaluganda |
abo b'ansobera ekyeggulo bakirya matumbibudde |
abo banno bagambe bakendeeze ku maloboozi tebazuukusa omwana |
abo bonna b'olaba ba munju emu eya nguli kapalaga |
abo bonna bava kuyigga mbwa eyagudde eddalu |
abo bonna boolaba awo balebesi tobeesiga nyo lindako nnanyini bintu atuuke |
abo bonoonyi nyo b'alese ne ggaali ya jjajjaabwe bagyonoonye |
abo boolaba balina entondo nga nnyabwe |
abo ekyeggulo bakirya enjuba y'akagwa |
abo nno abasula mu ggoloofa olowooza baagala okubakyalirakyalira |
abo nno beebakola emidalizo giri gye nnakuleeterako |
abo totegana kubatumira mubaka togenda kubasangayo |
agambye nti tajja kukola yalwadde olukya |
ago amabala geetaga ssaabuuni wa buwunga genda omunoonye |
ago amaggwa geetaaga kwokya |